Ssekamatte atadde akazito ku Ssentamu ku by'engatto y'omuteebi
May 12, 2021
OLUTALO lw’okulwanira engatto y’omuteebi wa sizoni eno 2020/21 mu ‘Star Times Uganda Premier League’ lweyongedde ebbugumu wakati wa Samuel Ssekamatte(Soltilo Bright Stars) ne Yunus Ssentamu(SC Vipers).

NewVision Reporter
@NewVision
Egyazanyiddwa mu liigi ya ‘Super’
Soltilo Bright Stars 3-1 Mbarara City
Onduparaka 1-0 Sports Club Villa
Busoga United 1-1 Wakiso Giants
UPDF 1-1 MYDA
Eggulo (Lwakubiri May 11, 2021) Ssekamatte yateebye ggoolo 2 nga Soltilo Bright Stars ekuba Mbarara City 3-1 ku kisaawe ky’e Kavumba n’aweza omugatte gwa ggoolo 12 sizoni eno ekyongedde okuteeka akazito ku Ssentamu akulembedde abateebi ne ggoolo 13. abazannyi ba Soltilo Bright Stars nga basanyukirako Ssekamatte (wakati )olw'obuwanguzi
omutendesi Kajoba ku ddyo lwe yayanjula Sentamu ku ttiimu ya SC Vipers
“Omutindo kwendi guvudde ku kukwatagana n’okukolera awamu nga ttiimu era obuwanguzi bwonna tubutuukirako wamu, ekigendererwa kyange kusitukira mu ngatto ya muteebi wa sizoni eno,” Ssekamatte bwe yategeezezza.
Ku Lwomukaaga lwa wiiki eno (May 15, 2021), Soltilo Bright Stars bazzaako kukyalira BUL FC ku kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe.
No Comment