Wakiso Giants erumbye Busoga okugyesasuza

May 11, 2021

LIIGI ya babinywera ‘Star Times Uganda Premier League’ eddamu leero n’emipiira 4, ku bisaawe eby’enjawulo nga buli ttiimu erwana kumalira mu bifo ebisava.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero(Lwakubiri) mu liigi

Busoga United – Wakiso Giants, Njeru

Soltilo Bright Stars – Mbarara City, Kavumba

UPDF – MYDA, Bombo

Onduparaka – SC Villa, Arua

Omupiira oguyinza okutunuulirwa ennyo gwe guli wakati wa Busoga United ng’ekyazizza Wakiso Giants ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru.

Wakiso Giants emu ku ttiimu ezikyasinze okukola amaliri mu liigi eno, emipiira gyayo ena egisembyeyo ne ttiimu ez’enjawulo, esatu egiwangudde omuli n’okukuba UPDF ggoolo 5-1 ku wiikendi. Ekoze amaliri ga mulundi gumu, eno ffoomu gy’etaddewo egiyambye okuva wansi mu ttiimu ezibadde zisulirira okusalwako, n’edda mu kifo ekyo 9.

Omutendesi Douglas Bamweyana yandyagadde okulaba ng’azimbira ku buwanguzi bwa wiikendi ate ttiimu ye obutaddayo mu bannambalujjega n’okutaasa omulimu gwe.

Gye buvuddeko baamutadde omutendesi Alex Gitta okumuyambako nga ssinga asumagira ssaawa yonna ono(Gitta) asobola okumutwalako omulimu era bukya Gitta ajja ttiimu ekyuseemu.

Busoga United egenze eddirira nga ne ku wiikendi yalemeddwa okumegga Kitara FC abasembye wansi ku kimeeza, baakoze maliri (2-2). Wabula kino tekirina kweyibaaza Wakiso Giants kuba Busoga bali waka ate ensiike eyasooka e Kavumba, Busoga yakuba Wakiso(1-0). Kati kisoboka okubadda mu biwundu.

Enjawu ya ttiimu zombi ya kabonero kamu kokka, mu kifo ekyo 9, Wakiso Giants erina obubonero 26 ate Busoga mu kye 12 erina obubonero 25. Kitegeeza nti awangula ye yeetakkuluza ku munne n’okutangaaza emikisa gy’obutasalwako.

Emipiira emirala

Soltilo Bright Stars ku bubonero 34 mu kifo ekyo 6, ng’omutendesi waayo Mbowa yaakawangula ekirabo ky’omutendesi asinze omutindo omwezi oguwedde okuva mu Nile Breweries abasogozi ba Pilsner, ayagala kufiira ku Mbarara City abalabika nga bye basiba bikutuka.

UPDF  abaakamala okukubwa Wakiso Giants (5-1) bali waka ng’obusungu baagala kubumalira ku MYDA abaddiridde asembye ku kimeeza n’obubonero 10 bwokka.

Onduparaka eri waka ng’eyagala kwesasuza SC Villa eyagikubira e Bombo (1-0) mu nsiike eyasooka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});