Mourinho alagidde

May 12, 2021

ROMA eya Yitale, eyingidde olwokaano lw’okugula omuzibizi Ben White owa Brighton.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino ekikoze ng’esinziira ku biragiro bya kooci Jose Mourinho gwe baakafuna, eyabagambye nti ttiimu bw’eba yaakusituka, balina okugula abazannyi ab’omuzinzi.

Roma, yali nsolo nkambwe mu ttiimu za Yitale wabula kati tekyaluma nga ne sizoni eno, eri mu kifo kyamusanvu ku bubonero 58 mu mipiira 35. Yasemba okuloza ku ssanyu ly’ekikopo mu 2008. Mourinho bw’alagidde batandike okugula abazannyi abanaagiggumiza sizoni ejja, basitukiddemu.

Basookedde ku kulamuza muzibizi kuba ensangi zino, abazibizi abalungi bayaayaanirwa nnyo ttiimu. Kino kyeyoleka ku Virgil van Dijk (Liverpool) ne Sergio Ramos owa Real Madrid, abeetooloorerwako ttiimu zaabwe. Era ne Ben White gwe baagala okukansa, aliko ttiimu za Premier ez’enjawulo ezimuyaayaanira.

 Kuno kuliko Liverpool, Arsenal, ManU, PSG ne Dortmund nga nazo zaasindise dda basajja baazo, okwetegereza omusambi ono.Kino kyandiviirako Brighton mw’asambira, okumuseera.

Ben White, Mungereza nga wa myaka 23. Omupiira gwa pulofeesono yagutandira mu Brighton mu 2016 kyokka ebadde emwazika mu ttiimu ezitali zimu okutuusa lwe yalabye nga yeggyako zaabu, n’emuzannyisa sizoni eno era n’agikakasa nti asobola.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});