Sheikh Mubajje okwogera bino abadde mu kusaaza Idd el Fitri ebadde ku muzikiti gwa Old Kampala n'amutegeeza nti nga bwe yakyogedde lunye nti ebyobufuzi byawedde Bannayuganda baddemu bakole nabo abali mu makomera ag'enjawulo bateebwe kubanga balina ffamire ezaali ziyimiridde ku bo nga mu kaseera kano ziri mu kubonaabona.
Abasiraamu nga basaala
Mufti Mubajje ng'ayogera
Ying Kiggundu Badru naye yabaddeyo mu kusaala
Ono yasinzidde wano ne yeebaza Abasiraamu bonna okusiiba n'okuyita mu kisiibo kino obulungi n'abasaba okusigala nga beeyisa nga bwe babadde mu kisiibo.
Bo Abasiraamu beeyiye mu bungi ku muzikiti guno abeebyokwerinda ne batuuka n'okusibira abamu ebweru. Abasinga okusaala bakulingiza bulingiza.