Supreme Mufuti, Sheikh Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde ensonga 10 ezigobye Ndirangwa e Kibuli.
EMMOTOKA ZA MUSEVENI
Sheikh Obed Kamulegeya(naye yatabuka n’ab’e Kibuli) yatunuza Pulezidenti mu buzibu bwa Bamaseeka n’abakulembeze b’Obusiraamu obutaba na mmotoka. Mufti Ramathan Mubajje naye yabuulira Museveni ensonga y’emu. Pulezidenti ne yeeyama okubagulira emmotoka.
Emmotoka za Museveni zaatuuse omwaka oguwedde e Kampalamukadde n’e Kibuli. Kyokka ez’e Kibuli, kigambibwa nti Nakibinge yazigaanyi okugendayo ne bazitwala ku Hotel Africana.
Bukya mmotoka zijja era ab’e Kampalamukadde ne batandika okuzikozesa ab’e Kibuli babadde bakoonagana ku ngabana yaazo kubanga tezibamala. Abamu nga bagamba nti zitwalibwe ba-District Khadi abatalina mmotoka. Abalala zikozesebwe abakulira ebitongole e Kibuli. Kyokka ate ng’emmotoka ezimu ziriko amannya g’abalina okuzitwala.
Kigambibwa nti Omulangira Nakibinge ekimu ku byamunyiiza ye Ndirangwa ne banne okukolagana ne State House ku by’emmotoka nga tebamugambye. Kigambibwa nti Omulangira yalagidde ziweebwe ba-District Khadi era ensonga n’azirekera Ndirangwa.
Kyokka bwe baatuuse okussa mu nkola nga bali ku Africana ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, ab’e Kibuli basatu ne balemerako babawe emmotoka kubanga zajjidde mu mannya gaabwe. Bano kuliko Hajji Badru Sagala akulira bannakyewa, Hajji Muhammad Kigozi Ssetyabule Ssaabawandiisi w’e Kibuli ne Sheikh Yusuf Sonko. Emmotoka ya Ndirangwa nayo yajjidde mu mannya ge kyokka ye yagondedde ekiragiro kya Nakibinge obutatwala mmotoka. Eggulo emmotoka yabadde ekyali ku Africana.
Mu kiseera we baagabidde emmotoka ate Omulangira yabadde Kibuli ng’asisinkanye ababaka ba Palamenti Abasiraamu.
Engabanya y’emmotoka nayo yayongedde okubatabula bwe kyavuddeyo nti Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh Muhamood Kibaate tafunanga kummotoka, akozesa ntambula yiye. ate ne ku luno ekiragiro kya nakibinge kyamuggyemu.
abaafunye emmotoka kuliko hajji musa kajubi ow’e butambala. ono waliwo abaamuwakanyizza nti si district khadi ate wa luganda ku hajji sagala akulira bannakyewa. Sheikh sulait sentongo naye yafunye. ono mumyuka wa district khadi w’e masaka. ono eriyo abaamuwakanyizza kubanga si district khadi.
OKUSUZAAWO ABASIRAAMU
Okusomooza ndirangwa kw’afunye be basiraamu abatutumufu abaatandikiriza okuva ku nkola y’okuziikirawo. dr. annas kaliisa bwe yafa nga november 3, 2020 yasula ennaku bbiri. Hajji Nasser Sebaggala yamala wiiki nnamba nga tebannamuziika. hajji katongole eyafudde mu kiro ekyakesezza olwokubiri, mu busiraamu yandibadde aziikibwa kw'olwo kyokka yasuziddwaawo n’aziikibwa lwakusatu!
kigambibwa nti kino kitemye mu kibuli ng’abakulu abamu baagala kuziikirawo abalala nga tebakirinaako mutawaana okusuza abafu. ndirangwa awagira kuziikirawo kyokka abanene abalina amaanyi e kibuli balina engeri gye bakyusizza ebintu, mu ngeri ndirangwa gy’alowooza nti enafuya kibuli naddala bwe batwalibwa ne babasaalira e kibuli.
ENSONGA ZA MUZAATA
Ndirangwa yafuna obutakkaanya ne banne ku ngeri y’enkwata y’ebintu bya muzaata. ndirangwa alowooza nti muzaata abadde munene e kibuli nga tewali ngeri gye bayinza kwesamba nsonga ze ne ziswaza obusiraamu. kyokka omulangira yasalawo “okutta ku bigere” okwewala kibuli okubeera mu kavuyo.
kyokka mu kusaalira katongole, omulangira yakyogeddeko ng’akubiriza abasiraamu okulaama ate babeeko bye bassaako essira okuli okulaga abakazi be balese ne be baayawukana nabo kyanguyize abasigaddewo okugonjoola ensonga.
EKISANJA KYA NDIRANGWA KYAGGWAKO
Ndirangwa okulya ekya supreme mufti waaliwo amannya amalala agaaleetebwa okwali erya dr. annas kaliisa agambibwa nti yawagirwa omulangira.
kyokka sheikh obed kamulegeya n’aleeta lya ndirangwa ne lisembebwa bamaseeka. kamulegeya ng’agamba nti ndirangwa teyalina bamulwanyisa ng’ajja kuyamba okugatta obusiraamu.
kyasembebwa ndirangwa akole emyaka ebiri baddemu balonde. okuva olwo tebalondanga. era buli lwe wabaddewo ekisobye nga bajjukiza nti lwaki ndirangwa tavaako kubanga ekisanja kye kyaggwaako dda!
ABADDE TALINA “GGAASI”
ndirangwa yadda mu bigere bya kayongo eyali ow’ettutumu olw’engeri gye yavangayo n’amaanyi ku nsonga zonna naddala okutunda oba okukwata obubi ebintu by’obusiraamu n’okunyigiriza abantu.
ndirangwa abadde tavaayo nnyo ng’asooka kwetegereza ate olwo ne babiwa muzaata y’aba abyogera. ekya ndirangwa okuleka abatwala ofiisi ez'enjawulo boogere ye n’asirika abamu bakiraba ng’obunafu era bakimuteekako nti assizza wansi ekitiibwa n’ettutumu lya ofiisi ya supreme mufti.
OKUFA KWA MUZAATA
muzaata yali wakati wa ndirangwa ne nakibinge nga mukwano gwabwe bombi. bukya alwala n’afa, wabaddewo obuzibu kubanga omulangira yeesiga abantu bato1no ate ng’amaze kulwa nabo. bwe wabaawo obutakkaanya abaasigala e kibuli waabuzeewo agamba omulangira ebifa mu nkambi ya ndirangwa n’abikkiriza. era wabadde tewakyali atwala ndowooza ya mulangira mu nkambi ya ndirangwa.
NDIRANGWA YEESOOSE OMULANGIRA
obubonero e kibuli bulaga nga ndirangwa abadde asulirira kugobwa. wabaddewo ebyogerwa mu bamaseeka abatuula ku lukiiko lw’abamanyi olwa majilis ulamah nti beteeketeeke okuyitibwa okulonda supreme mufti.
n’olwekyo ndirangwa bwe yabooleddwa mu kusaalira katongole n’amanya ng’ennaku ze e kibuli ziweddeko. kwe kwesooka ababadde bategeka okumugoba ye n’alekulira.
TALINA MUGONGO
ndirangwa bamunenya nti buli nsonga agitwala wa mulangira amusalirewo omuli n’ebintu ebitwalibwa ng’ebitono ebyandimaliddwa amangu ofiisi ya supreme mufti. atya okubaako ensonga gy’asalawo ku lulwe. byonna abirinza nkiiko olumu ne kirwisa ebyetaaga okusalwawo amangu.
ENKAAYANA Z’ABASIRAAMU
gavumenti yassaawo akakiiko okunoonyereza ku nkaayana z’abasiraamu nga kakulirwa eyali minisita tarsis kabwegyere. akakiiko kaafulumya lipoota era nakibinge n’awabula obutaddayo kubaako bye basaba gavumenti okutuusa ng’ebiri mu lipoota bissiddwa mu nkola.
nakibinge mwennyamivu nti lipoota teyakolwako ate abantu be ne bagenda mu maaso n’okwewuuba mu state house nga basaba ebintu birala ng’emmotoka. bwe bafuna bye basaba ne bibikka ebikulu ebyandiyambye obusiraamu.
Enfa y’abanene e kibuli
kibuli efiiriddwa abantu bangi okuva ku bamaseeka abattibwa. okufa kw’abantu bano kwavaako ebyogerwa bingi nti waliwo olukwe okutta abasiraamu, okunafuya kibuli (abasinga okufa b’e kibuli). waliwo abalowooza nti ofiisi ya ndirangwa yandibaddeko ky’eyogera ku bantu bano okuyamba abasiraamu okumanya ekituufu naddala ku kibuli w’eyimiridde. bakimuteekako nti “ndirangwa asirika nnyo”.