MYDA yeesasuzza Busoga United n'essungu
May 15, 2021
OMUZANNYI wa MYDA FC mu liigi ya babinywera omu bwati Ibrahim Nsimbe yeekwatidde Busoga United FC n’akomerera ggoolo 3-0 nga bagyesasuza okubakubira e Njeru mu nsiike eyasooka.

NewVision Reporter
@NewVision
Eggulo(Lwakutaano) mu liigi ya babinywera
MYDA FC 3-0 Busoga United
Leero(Lwamukaaga)
SC Villa – Vipers, Bombo
Mbarara City – Onduparaka, Kakyeka
BUL - Soltilo Bright Stars, Bugembe
Wakiso Giants – Kitara, Wakisha
Express – UPDF, Wankukukuku
URA – Police, Ndejje
Ng’ebula emipiira mukaaga sizoni eno okuggwa, eggulo(Lwakutaano May 14, 2021) Malaba Youth Development Associations (MYDA) yatandise olutalo lw’okulwanyisa obutasalwako n’obusungu bwe yabonerezza Busoga United FC (3-0) ku kisaaswe kya King George iv Memorial e Tororo.
Ensiike eyasooka Busoga yawangula(1-0) wabula ku luno Nsimbe mu ddakiika eya 21, 47 ne 88 yeetisse ttiimu ya MYDA ne ggoolo ssatu mu mupiira gumu, ekyamuweesezza n’ekirabo ky’omuzannyi w’olunaku okuva mu Nile Breweries abasogozi ba Pilsner era n’aweza kati ggoolo za liigi 10 ze yaakateeba sizoni eno.
Nsimbe (3)
Nsimbe eyateebye ggoolo ezaamezze Busoga United
Nsimbe agamba nti n’aganaafa bagasalira essubi “Newankubadde sizoni yatutabukako dda, ebintu bisobola okukyuka era emipiira gino egisigaddeyo tugizannya n’amaanyi,” Nsimbe bwe yategeezezza.
MYDA nga yaakagoba abadde omutendesi waayo Abdul Samadu Musafiri, kati abadde omumyuka we Elisa Madanda n’akwata enkasi, basobodde okuwangula emipiira esatu gyokka, amaliri ga mirundi etaano ate bakubiddwa emirundi 16.
Mu kifo ekye 15 bakung’aanyizza obubonero 14 mu mipiira 24 nga betaaga okuwangula emipiira gyonna 6 egisigaddeyo okuwadaawadako okuwona ekyambe.
Ku Lwokubiri (May 18, 2021) bazzaako kukyalira Kitara FC abakwebedde ku kimeeza kya liigi n’obubonero 10 bwokka.
Abby Kikomeko Bogere atendeka Busoga United oluvannyuma lw’omuzannyi we Sharif Kimbowa okulemwa okuteeba penati gye baafunye mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka, yakkirzza nti olunaku terwabadde lwabwe kuba obwedda buli muzannyi takola nga bwe kyandisuubiddwa.
Mu kifo kya 13,emipiira 24, bawanguddeko 6, amaliri ga mirundi 8 n’obubonero 26, ku Lwokubiri (May 18, 2021) bazzaako kukyaza Express FC ku FUFA Technical Center Njeru.
No Comment