Owa MYDA FC bamugobye lwa mutindo gwa kibogwe

Apr 07, 2021

ABADDE omutendesi wa MYDA FC mu Star Times Uganda Premier League, Abdusamadu Musafiri akwatiddwa ku nkoona ne yeekwasa okumulanga okubasaba ssente za mwaka gumu n’emyezi 7 z’ababanja.

NewVision Reporter
@NewVision

Ku Mmande abakungu ba MYDA baagobye Musafiri olw’omutindo gwa ttiimu ogugaanye okummukka bukya yeesogga liigi ya babinywera sizoni eno.

Musafiri agamba nti obuzibu bwonna bw’atandika emyezi esatu emabega bwe yatandika okukangula ku ddoboozi asasulwe ssente ze. Era okuva kw’olwo olutalo lubadde lw’amaanyi nga baagala agende nga tebamusasudde ate nga naye tayagala kuleka ssente mabega.

“Nakakkiddwa okuteeka omukono ku bbaluwa esazaamu endagaano yange kuba obulamu bwange bubadde buli mu matigga, ebbanga lino lyonna mbadde nkolera ku bunkenke nga buli mupiira gw’awaka abawagizi bamaliriza baagala kunkuba ate ng’abakungu ba ttiimu nabo babawagira, jjuuzi Villa lwe yatukuba 2-1, abawagizi baali baagala kunjokya era nasula ku nsiko e Tororo,” Musafiri bwe yategeezezza.

Agamba nti bukya okuva mu September 17, 2019 MYDA lwe yaggulawo Big League ng’eva mu ligyoni, yaakasasulwako akakadde 1.700.000 zokka ku musaala gw’alina okufuna.

“Mu Big League endagaano yange eragira kusasulwa akakadde kamu n’ekitundu, ate bwe twesogga ‘Super’ endagaano yali ya bukadde bubiri buli mwezi, kyewuunyisa nti ntuuse kusindiikirizibwa nga sisasuddwa naye mbakwasizza Katonda,” Musafiri bwe yagasseeko.

Baker Musaazi maneja wa ttiimu agamba nti ebyo byonna omutendesi Musafiri by’ayogera bya bulimba era ssinga bibadde bituufu lwaki abaddenga tavaayo kubyogera mu mawulire n’alinda okugobwa.

“Sirina bingi bye nnyinza kwongera ku bulimba bwa Musafiri, oba abadde tasasulwa, abadde abeerawo atya ne ffamire ye, ffe ekimugobezza ttiimu ebadde ekola bubi ate nga tetwagala kusalwako kyokka abasambi twabamuwa,” Musaazi bwe yatangaazizza.

Ono kati yeegasse ku Brian Ssennyondo(Mbarara City), Viali Bayinomugisha(Onduparaka), Livingstone Mbabazi(Kyetume FC) ne Mike Mutebi(KCCA FC) abaakagobwa sizoni eno mu liigi ya babinywera.

MYDA y’eddiridde asembye mu liigi n’obubonero 6 mu mipiira 16.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});