Eddy Mutwe ne banne bamaze okutuusibwa mu kkooti y'amagye e Makindye
EDWARD Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe ne banne bamaze okutuusibwa ku kkooti y'amagye e Makindye okuwulira okusaba kwabwe okw'okweyimirirwa.
Eddy Mutwe ne banne bamaze okutuusibwa mu kkooti y'amagye e Makindye
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision
Bano baakwatibwa nga December 30,2010 e kalangala Bobi wine bweyali anonya akalulu kobwapulezindeti. Baasimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa okusangibwa n'amasasi 4 e Makerere Kavule agagambibwa nti ga UPDF ate baagalina mu bukyamu.
Kigambibwa nti omusango baaguzza nga January 3,2021. Abawawaabirwa baali 49 kyokka abamu ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti era 36 be baasigala mu kkomera nga nabo kati baagala kuyimbulwa.