Asabye Abakulembeze b'Obusiraamu okwetowaza

Mar 20, 2021

OMUMYUKA wa Supreme Mufti, Sheikh Mohamood Kibaate Ssebuggwawo akubirizza abakulembeze mu Busiramu okubeera abeetowaze mu kuutikkiriza obuwereeza obubeera bubaweereddwa

NewVision Reporter
@NewVision

Sheikh Ssebuggwaawo yagambye nti kino kye kimu ku bijja okutwala Obusiraamu mu maaso mu maaso. Bino yabyogeredde ku muzikiti gw’omu Kiwalimu e Naggulu mu ggombolola ya Mumyuka Nakawa ku Lwokutaano March 19, 2021 ku mukolo ng'omumyuka w’omukulu w’ettwale ly’e Naggulu- Bbiina Hajj Ahmed Matovu bwe yabadde atuuzibwa.

Sheikh Kibaate( wakati) , Hajj Ahmed Matovu(ow'okusatu  ku kkono), Sheikh Habib Edirisa Luswabi. Ate ow'okubiri okuva ku ddyo ye Mugambe ne  Balimwezo.

Sheikh Kibaate( wakati) , Hajj Ahmed Matovu(ow'okusatu ku kkono), Sheikh Habib Edirisa Luswabi. Ate ow'okubiri okuva ku ddyo ye Mugambe ne Balimwezo.

“Nnamwe abakulembeze mbasaba mumuyambe asobole okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe. Mbasaba mulwanirire obumu ate n’okulemera ku nsonga bwebeera nga ntuufu ng’etwala obusiramu mu maaso,” Sheikh Kibaate bweyasabye.

Sheikh Habibu Edirisa Luswabi nga ye Kadhi wa Kampala ye yalayizza Hajj Matovu ku bukulu buno n’okumwambaza ekyambalo era n’amusaba okukolagana n’obukulembeze obw’enjawulo mu kitundu kino.

Hajji Matovu ng'alayira

Hajji Matovu ng'alayira

Ying. Ronald Balimwezo  Mmeeya w’e Nakawa alikone Paul Mugambe, Mmeeya omulonde ow’e Nakawa beetabye ku mukolo guno. Balimwezo yeeyamye okuwagira emirimu gya Hajji Matovu okuli omulimu ogumusabiddwa ogw’okumugulira ‘Jjuba’ empya ey’ekitiibwa.

Mu kwogera kwe Matovu yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno ng’atandikira ku kusaka ebyo ebineeyambisibwa abasiibi mu kisiibo ekinaatandika omwezi ogujja n’okulaba ng’akuuma eby’obugagga by’Obusiramu mu kitundu kino.

Hajj Matovu ye Mwami w’eggombolola Mu muluka gw'e  Nakawa era yategeezezza nti waakukozesa obumanyirivu buno mu buwereeza obuggya obumuweereddwa.

 
 
 
 
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});