Ogw'okuzimba omuzikiti gw'ekitebe ky'Abasiraamu mu Masaka gutambula

May 14, 2021

OMULIMU gw'okuzimba omuzikiti gw'ekitebe ky'Abasiraamu mu Masaka abali wansi Uganda Moslem Supreme  Council  gutambula bukwakku.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Ssennabulya Baagalayina

OMULIMU gw'okuzimba omuzikiti gw'ekitebe ky'Abasiraamu mu Masaka abali wansi Uganda Moslem Supreme  Council  gutambula bukwakku.

Emyaka gy'ekulunguludde ng'Abasiraamu bano babutabutana olw'obutabeera na watuufu we  basaalira Juma ne Swala endala.

Kino kyava ku bannaabwe abakkiririza e Kibuli okuwamba omuzikiti omukulu ne bagufumuulamu eyali disitulikiti Kadhi, omugenzi Sheikh Uzairu Kiruuta n'abamukkiririzaamu.

Ab'e Kibuli baatuuza Sheikh Swaib Ndugga okubakulira mu Greater Masaka nga Disitulikiti Kadhi.

Wano aba Kampalamukadde oluvannyuma lw’okuwummula kwa Sheikh Kiruuta (nga tannafa) baalonda Sheikh Bruhane Bagunduuse okutuusa Mufti Sheikh Shabani Mubajje n'olukiiko lwe bwe baamuwummuza. 

 Mufti Mubajje yalonze Sheikh Badiru Wassajja  okusikira Kiruuta okukuuma entebe ya Disitulikiti Kadhi wa Masaka ng'atwala ne Kalungu.

Wadde ne Sheikh Bagunduuse akyagugubye okuzzaayo obuyinza, Sheikh Wassajja atandikidde mu ggiya ng'asoose kuzimba muzikiti.

Sheikh Wassajja ng'ayambibwako aba Sharia Assembly of Uganda nga bakolagana ne mikwano gyabwe Abawarabu, omuzikiti aguzimbye mu Soweto mu kibuga Masaka.

 Agulambuzza Bamasheikh abakulembeddwa ow'ettwale Sheikh Yasin  Nseera n'abagamba nti yali ategese okugusaalizaamu Iddi el fitri naye tekisobose n'asuubiza nti Idd Aduha ejja kusing'aana guwedde.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});