Ebitabudde ab'e Kibuli

MAWULEDI y’okukuza amazaalibwa ga Nabbi Muhammad (S.A.W) eya 2018 yali yanjawulo.

Ebitabudde ab'e Kibuli
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kibuli #Supreme Mufti #Kamulegeya #Nakibinge #Ndirangwa

Sheikh Nuhu Muzaata yakwata omuzindaalo ku mukolo guno e Kibuli nga November 20, 2018 n’alangirira nga Sheikh Obed Kamulegeya bwe yali agobeddwa ku kifo ky’okukulira Bamasheikh mu Uganda ne bamusikiza Sheikh Abdulnoor Lunaanoba.

N’agamba: Sheikh Kamulegeya akukuta n’aba Kampalamukadde aba Mubajje.

Okuva olwaleero Abasiraamu mwenna abakkiririza mu bukulembeze bw’e Kibuli tubalabula okukomya okutuyita ku mukolo gwonna ogunaabeerangako Sheikh Obedi Kamulegeya kubanga twamwesiga nga tulowooza nti atambulira wamu naffe naye tumaze okukizuula ng’ali ku birala”.

Bukedde yayogera ne Kamulegeya n’abamu ku bamuli ku lusegere ne basonga ku wava obuzibu e Kibuli.

TEBAAGALA KUKOLAGANA NA BIWAYI BY’ABASIRAAMU

Muzaata yategeeza: Kamulegeya atusobedde okukulira enjiri y’okwegatta kw’Abasiraamu ng’ayagala okutugatta ku ba Kampalamukadde buli omu b’amanyi obulungi lwaki tetusobola kwegatta nabo.

Kino enkambi ya Kamulegeya yategeeza Bukedde nga bwe kiri eky’obulabe aba Kibuli okwongera okuwakanya okwegatta nga kimaze okweraga ng’okwegatta ge maanyi. Kamulegeya yagenda mu maaso n’okwogeraganya ne Mubajje n’ab’e Kampalamukadde.

ENKOLAGANA YA NDIRANGWA NE KAMULEGEYA

Kamulegeya bwe yava e Kibuli, Ndirangwa abadde n’obuzibu bw’okulemwa okweyawula ku Kamulegeya.

Y’omu ku baamulera mu Busiraamu (Kamulegeya abadde n’ettutumu mu Busiraamu okuva ku mulembe gwa Obote l) ate n’abeera mukama we ng’akulira Bamasheikh.

Ate Supreme Mufti Zubair Kayongo bwe yafa, Kamulegeya ye yaleeta erinnya lya Ndirangwa okumusikira era n’alondebwa nga December 16, 2015. Okuva olwo Ndirangwa asisinkana Kamulegeya n’amwebuuzaako ku nsonga ezitali zimu.

Kino abamu e Kibuli tebakyagala naddala oluvannyuma lwa Muzaata okulabula bwe bajja okukola ku muntu yenna akolagana ne Kamulegeya.

Kibuli

Kibuli

ENKOLAGANA NE GAVUMENTI

Enkambi ya Kamulegeya egamba nti ekimu ku byabatabula ne Kibuli ze kampeyini z’okulonda Pulezidenti mu 2016 ezaatandika mu 2015.

Kamulegeya yawoma omutwe mu nteekateeka za gavumenti okuwa ab’e Kibuli ekyapa ky’omuzikiti gw’oku William Street ogwali gwatundwa wabula Pulezidenti Museveni n’akinunula okuva mu mikono gy’omusuubuzi Drake Lubega.

Kamulegeya yali ayagala omukolo gutegekerwe Kibuli kyokka ng’abamu ku bakulembeze bagamba nti ekyo kyali kijja kutaputibwa bubi kubanga akaseera kaali ka kampeyini. Ku nkomerero omukolo gw’okuwaayo ekyapa baagutegekera Kakiri.

Kyokka abakulembeze ab’oku ntikko e Kibuli, omukolo tebaagwetabaako.

Ekirala ekyabatabula gwe mukolo gwa Zakat ogwategekebwa ku Africana era Kamulegeya ng’omukulembeze w’ekibiina kya House of Zakat and Waqf yaguwomamu omutwe.

Ku mukolo guno, Museveni yawa ekibiina kino obukadde 400. Omuyima w’ekibiina kino Omulangira Nakibinge yali asuubirwa okubeerawo ku mukolo guno naye teyasobola.

EKIFO KYA NAKIBINGE

Sheikh Kamulegeya yali omu ku bawakanya ekya Jjajja w’Obusiraamu (Omulangira Nakibinge) okutwalibwa ng’Omukulembeze w’enzikiriza ng’agamba nti Obulangira bulina okwawulwa ku bumanyi mu by’eddiini era ng’alina endowooza nti abamanyi mu by’eddiini be balina okusoosowazibwa; ekintu ekyanyiiza ennyo ab’e Kibuli.

Ndirangwa nga Supreme Mufti waliwo abalowooza nti yandibadde y’avunaanyizibwa ku nsonga zonna ez’ebyeddiini.

Kyokka ate emirundi egisinga Omulangira y’asalawo.