Sheikh Yasir Kulumba asiimye abalamuzi olw'oggyawo ebigezo ku lunaku lwa Eid

AKULIRA eby’eddiini mu ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli, Sheikh Yasir Kulumba yebazizza abalamuzi olw’ensala yaabwe ennungi ne bakkiriza waleme kuteekebwangayo bigezo ku nnaku za iddi n’agamba nti kigenda kwongera okuwa abayizi omukisa okujjaguzanga obulungi ennaku zino.

Sheikh Yasir Kulumba asiimye abalamuzi olw'oggyawo ebigezo ku lunaku lwa Eid
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Dickson Kulumba

AKULIRA eby’eddiini mu ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli, Sheikh Yasir Kulumba yebazizza abalamuzi olw’ensala yaabwe ennungi ne bakkiriza waleme kuteekebwangayo bigezo ku nnaku za iddi n’agamba nti kigenda kwongera okuwa abayizi omukisa okujjaguzanga obulungi ennaku zino.
Bino abyogeredde mu kusaala iddi  ku muzikiti gwa Faraaj ogusangibwa mu Bubajjwe Zooni,Bwaise I mu divizoni y’e Kawempe bagikwatidde mu kibangirizi ky’amaka ga Abdallah Kisitu agali mu Kiyaga zooni.
Kino kiddiridde Omulamuzi Irene Mulyagonja ne banne bwebali ku kkooti etaputa Ssemateeka okusala omusango nga bagaana UNEB okuddamu okuteekawo ebigezo ku lunaku lwa Eid.
Okusaala okukulu kwakulembeddwamu Sheikh Abdul Majid Mugwanya okuva mu ofiisi ya ddaawa(okusomesa obusiramu) ku kitebe ky’obusiramu e Kampalamukadde ng’ono yasabye abaddu ba Allah okuwasanga abakyala abayigirizeeko kubanga bano si bakukotegera baana bebanazaala mu kusoma ate n’okubawa obujjanjabi n’empisa ennungamu kubanga ebiseera ebisinga obungi bebabeera n’abaana bano.
Okusaala kwetabiddwamu abantu bangi era nga waliwo omukuumi wa securiko eya Saracen nga ye Denis Tibanyendera asiramuse nga kati awereddwa erinnya ly’ekisiraamu ye Hassan Tibanyendera ng’ono yafunye akanyolagano ne munne Omuserikale Kayirima  nga katono beekube amasasi ku Lwokusatu May 12,2021.