Abasoma obusomesa babanguddwa mu byemikono

ABAYIZI abasoma obusomesa ku nnoni babagattiddeko okutendekebwa mu mirimo egy'emikono kibanguyize obulamu nga batandise okusomesa nga tebabwesigamizza ku musaala gwokka.

Abasoma obusomesa babanguddwa mu byemikono
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kibuli #Ebyemikono #Kibuli Muslim Core Primary Teachers #Omulangira Kassim Nnakibinge

Bano obusomesa babutendekerwa mu Kibuli Muslim Core Primary Teachers mu Kampala. Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Jjajja w'Obusiraamu  Omulangira Kassim Nnakibinge n'aboolukiiko lwe  olufuzi ne bagikwasa alikulira Hajat Aidah Nambuusi Kibedi.

Baabayigirizza okukola ssabbuuni

Baabayigirizza okukola ssabbuuni

Kino kikoleddwa okunnyikiza ebiruubirirwa bya Gavumenti nti abayizi bonna bakugukeko ne mu by'emikono bibayambe okweyimirizaawo  n'okubakendeereza ku bbulwa ly'emirimo.

Hajjait Kibedi ategeezezza nti okuva lwe bakendeerezebwa ku muggalo gwa COVID 19, baatandikirawo okugattirako abayizi obusomesa n'okubatendeka eby'emikono.

Oluvannyuma abayizi n’abasomesa baayolesezza obukugu bwe bafunye mu kukola ssabbuuni, ebizigo,emisubbaawa, okusiika ebyokulya ebitali bimu, okukamula ebyokunywa n’ebirala. Baabasomesezza n'ebyobulimi eby'omulembe olw'okunnyikiza omulanga gwa Ssaabasajja ogw'enkumbi terimba ne babubaagazisa kuba babufunamu ssente n'emmere mu maka.