Balaam atabukidde abaayiye ekivvulu kye

Jan 03, 2022

OMUTEGESI w'ebivvulu Balaam Barugahare asabye omukulembeze w'eggwanga okwongera okutereeza mu poliisi nti kubanga ekyalimu kawuukuumi.Okwogera bino yabadde ku kivvulu kye yategese ku National Theater ku Lwomukaaga nga January 1, 2022 oluvannyuma lwa poliisi okuyiwa ekivvulu kye kye yali ategese mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga bagamba nti tekyalina kubaawo ate nti yali aleekanyiza abantu ebidongo.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTEGESI w'ebivvulu Balaam Barugahare asabye omukulembeze w'eggwanga okwongera okutereeza mu poliisi nti kubanga ekyalimu kawuukuumi.
Okwogera bino yabadde ku kivvulu kye yategese ku National Theater ku Lwomukaaga nga January 1, 2022 oluvannyuma lwa poliisi okuyiwa ekivvulu kye kye yali ategese mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga bagamba nti tekyalina kubaawo ate nti yali aleekanyiza abantu ebidongo.
Balaam yagambye nti yeewunyizza nnyo poliisi okukimukola kubanga yabadde afunye
olukusa okuva eri akulira ebikwekweto mu poliisi, Edward Ochom okukola ekivulu
kya bannamawulire.
Ekivvulu kye yategese ku National Theater kyo kyatambudde bulungi nga kyavudde ku ssaawa 1:00 yennyini okutuusa ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.
Abayimbi baasinzidde wano ne bongera okusaba pulezidenti Museveni nti nga bwe yatadde amabaala ate nabo asaanye abalowoozeeko.
Ekivvulu kino ekyabadde kiragibwa obutereevu ku ttivvi kwabaddeko abayimbi okwabadde Spice Diana, Big Eye, Levixone, Nina Roz, Kataleya and Kandle, Martha Mukisa, Dax Kartel, Rahma Pinky n’abalala bangi.
Bano baagumizza abawagizi baabwe abaabadde babalaba ku ttivvi nti tebasaanye kutya kubanga bbo balina okukkiriza nti omwaka guno baakuddamu okukuba endongo.
Bakira buli muyimbi ajjukiza abawagizi be nga bw’abadde abasubwa era bangi ku bbo basuubizza ebivvulu guno omwaka

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});