🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Vivian Tendo annyonnyodde lwaki yayabiza Oman Rafik

OMUYIMBI Vivian Tendo asabye abawagizi be okumusonyiwa eky’okuba nga yatadde obubaka eyali maneja we bw’abadde amusindikira ku mutimbagano. 

Vivian Tendo annyonnyodde lwaki yayabiza Oman Rafik
By: Ignatius Kamya, Journalist @New Vision

Bya Ignatius Kamya 

OMUYIMBI Vivian Tendo asabye abawagizi be okumusonyiwa eky’okuba nga yatadde obubaka eyali maneja we bw’abadde amusindikira ku mutimbagano. 

Ono bwe yabadde agenze ku ddwaaliro l’ye Kawempe okutwalira abakyala ebyokulya bwe yabuuziddwa bannamawulire lwaki yakola ekintu bwekityo yagambye nti kibadde kimususseeko kubanga abadde afuna obubaka obumutiisatisa ne ffamire ye okuva ewa Oman Rafik. 

Ebimu Ku Bintu Vivian Tendo Byeyatute Mu Ddwaaliro E Kawempe.

Ebimu Ku Bintu Vivian Tendo Byeyatute Mu Ddwaaliro E Kawempe.

Agamba nti yayagadde abawagizi be okukimanya nti ssinga wabaawo obuzibu bwonna obumutuukako oba omu ku mikwano gye awookutandikira balinawo. 

Kinajjukirwa nti Vivian Tendo yava mu kikoosi kya Oman Rafik ebbanga lya mwezi nga gumu emabega ekitasanyusa Oman Rafik.

Rafik agamba nti yali amukoledde bingi okulaba ng’ayitimuka okutuuka ku ddaala lyaliko kyokka mbu okuva bwe yava e SouthAfrica yeeyisa mu ngeri etajja

Tags:
Vivian Tendo
Oman Rafik