Medi Moore ne Prima Kardashi, eyali muninkini wa Geo Steady banyumiddwa obulamu e Dubai

Olwavudde e South Africa, Medie More omu ku bavubuka Bannayuganda abamanyiddwa okulya obulamu yasibidde Dubai.

Medi Moore ne Prima Kardashi, eyali muninkini wa Geo Steady banyumiddwa obulamu e Dubai
By Martin Ndijjo
Journalists @New Vision
#Medi Moore #Prima Kardashi #Geo Steady #Mr. Henri

Banne babadde bakyebuuza kye yagenze okukola yo, bagenze okulaba bifaananyi bye (Medi) ng’ali ne Prima Kardashi eyali mukyala w’omuyimbi Geosteady ne bawukana n’afuna DJ w’okuleediyo Mr Henrie nga gwali naye bapepeya na kunyumirwa bulamu.

Ebifaananyi bino byogezza abantu obwama, buli obwedda abiraba ayogera bibye, abamu obwedda bakungirizza Medi Moore butawooneka ate abalala nti yandiba nga akutte Mr Henrie mu liiso.

Wadde nga Prima atera okutambula ne muninkini we Mr. Henrie, ku mulundi guno kirabika yamulese Kampala.

Medi Moore bw'abuuziddwa ku nkolagana ye ne Prima ne kye baliko e Dubai ono ataayagadde kwogera kiwanvu ku nsonga zino azzeemu kimu nti “Sirina budde bwogera ku nsonga eyo, nze nagenze ku ntujju ya ‘Real life summer festival’ bw’oba oyagala buuza Prima.”