Omugagga Lwasa tapowa! Apangisizza Paasita amunoonyeze omukazi w'ekkanisa atya Katonda amukube embaga

Oct 12, 2022

Omugagga Emmanuel Lwasa tapowa! Ebya Vanessa okumuyiwa n'atalabikako ku mukolo gw'okukyala n'adduka n'obukadde 30 tebimuyigudde ttama.

By Frank Lukwago
Journalist @New Vision

Lwasa eby'okulumwa omutima olwa Vanessa okumuboola abitadde ku bbali, n'adda eri omutonzi amuyambeko afune olubiriizi lwe olumutegeera ate nga lutya Mukama.

Lwasa agamba nti mu kkanisa alina essuubi nti ajja kufunamu omubeezi omutuufu atali muyaaye anaamubiita, okumwagala n'okumusuuta nga bwali.

Kinajjukira nti Lwasa abawala kumpi abasinga abadde abaggya mu bibaala olwo ne bagwa mu mukwano abamu n'abanjula ne batandika okumeketa ssente.

Kati nno Lwasa abitaddemu Paasita agenda okumuyambako okufuna omuwala/omukazi omutuufu nga wa kkanisa ate nga ayagala Katonda amukube embaga n'ebyenda bimwetokote.

“Nkimanyi nja kufuna omukazi omutuufu. Mpangisizza Paasita okunnyambako okufuna omukyala omutuufu gwe ng'enda okuwasa,” Lwasa bwe yagambye.

Kyokka Lwasa yagaanye okwogera erinnya lya Paasita gwe yawadde omulimu guno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});