Chameleone, Rema, King Saha, Juliana n’abalala bacamudde ab’e Makindye
Dec 27, 2022
ABADIGIZE abamanyi okulya ku kkaasi e Makindye Ssekukulu bagikwatidde ku Calender mu kivvulu kye baatuumye Christmas Kawoowo.
By Ignatius Kamya
Journalist @New Vision
Bano bafunye omukisa okwerabira ku bayimbi baabwe okwabadde Chameleon, Juliana, Rema Namakula, King Saha n'abalala bangi ku mitwalo 2 gyokka ekintu ekibadde ekizibu okulaba abantu abo bonna wadde ku mitwalo 5 guno omwaka.
Juliana Kanyomozi Entertaining The Crowd At Calender In Makindye (1)
King Saha y'omu ku baasinze okucamula abadigize bwe yasudemu akayimba ke aka Zakayo olwo nno n’atandika okukolokota omuyimbi omu ku banene nga banne bwe baakola embaga ate nga ye yamulema.
Essanyu nga lijula okutta abawagizi.
Ono era yeewozezzaako nti tawunya njaga nga bwe byogerwa abantu ab'enjawulo era nti omuntu asaanye asooke amusisinkane alyoke ategeere amazima kubanga mikwano gye gyo gikimanyi era gimwagala nnyo.
Jose Chameleon
Eno bakubye omuziki okutuusa ku saawa 7:00 ogw’ekiro nga Chameleon ne Weasel be baggaddewo olunaku.
Rema Namakula ng'akuba ab'e Makindye omuziki.
King Saha ng'ayiymba.
No Comment