Enteekateeka z'okutwala abaagalana ku bikujjuko bya Bukedde Tv ebya 'Valentine Ki power zengedde'
Feb 19, 2023
OLWOKUTAANO lwa wiiki ejja nga 24th February , abaagalana abaawangudde mu kazannyo ka Bukedde aka Valentine ki power lwe basimbula okwolekera ku kizinga e Kalangala baseeyeeyeze ku mmeeri ya MV Nodil Victoria okutuuka ku Victoria Forest Resort gye bagenda okumala ebiro bibiri nga beeraga amapenzi byonna nga bisasuliddwa Bukedde Tv y'omuntu wa bulijjo.

NewVision Reporter
@NewVision

Ebimu ku bintu bye bagenda okunyumirwa kwe kulambula ekibira kya Lutoboka eky'ebyafaayo nga muno mwemuli ennyumba ya John Speak gye yazimbamu mu 1875 bwe yali asenze mu Uganda, okuzuula ensibuko y'omugga Kiyira (the source of river Nile).
Abaagalana bino bye bagenda okunyumira
Abaagalana baffe era bagenda kwevugako mu lyato eriwenyuka ng'akaweewo ng'eno bwe beeraga amapenzi.
Abakozi ba Bukedde nga bakulembeddwamu Dorah Namala omu ku bakitunzi baatuseeko ku Bizinga by'e Kalangala okulaga enteekateeka bwe zituuse.
Doreen Nyangoma kitunzi wa Victoria Forest resort ne banne baatulambuzza ebintu bino eby'enjawulo abawanguzi bye bagenda okunyumirwa n'atukakasa nti beetegese bulungi okwaniriza abantu baffe mu ssanyu n'okubabudaabuda mu ngeri ey'enjawulo .
No Comment