Omugagga Emmanuel Lwasa yeegasse ku Bannayuganda okukungubagira omugenzi Kato Lubwama.
Ono ategeezezza nti abadde apangisa Kato Lubwama emirundi mingi okumulwanira entalo ate n'aziwangula n'agamba nti musaaliddwa nnyo.
“Lubwama yannyambanga nnyo okulwana entalo zange. Nze simanyi kuvuma bantu naye Kato yali tatya biduduma. Yannyambanga okunzigyirawo enkonge mu kkubo ne mpitawo. Buli yannumbanga ng'amwambalira ng'amussa ku ttaka," Lwasa bwe yategeezezza mu lumbe lwa Kato Lubwama.
Lwasa yayongeddeko nti Kato yali tatya biduduma, n'agamba nti ajja kujjurwa nnyo olw'okuba n'obuvumu obw'ekitalo n'omutima ogutya kwogera kimuli ku mutima.
Kinajjukira nti mu August wa 2021 akatambi k'obuseegu akagambibwa okuba aka Lwasa ng'ali mu kikolwa ayesa mpiki za mukwano we kasaasaanira ku mikutu gy'empuliziganya, Kato Lubwama yavaayo n'awakanya nti oyo tasobola kubeera Lwasa, muntu mulala nnyo.
Kino kyasanyula Lwasa n'amuyita ne bakola ppate ne bakwata n'akatambi ne bakassa ku mikutu gya sosolo mediya.