Kasalabecca

Omugagga Lwasa asekeredde abatambuza 'pokopoko' nti yaggwaamu

Omugagga Lwasa awakanyizza amawulire agabadde  gasaasaanidde ku mikutu gya yintanenti nti ali mu katyabaga k'ebyensimbi era kati aliwo ku lwa Katonda ne mikwano gye.

Omugagga Lwasa asekeredde abatambuza 'pokopoko' nti yaggwaamu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omugagga Lwasa awakanyizza amawulire agabadde  gasaasaanidde ku mikutu gya yintanenti nti ali mu katyabaga k'ebyensimbi era kati aliwo ku lwa Katonda ne mikwano gye.

Lwasa agamba nti tannayavuwala nga ssamwasamwa bw'abungeesebwa wabula yaddirizaamu ku ngeri gy'asasaanyaamu ensimbi ze.

Lwasa yannyonnyodde nti takyamala gajaajaamya ssente mu bintu by'okwesanyusa omuli; omwenge n’abakazi, ekivuddeko abamu okumulowooleza mu bukyamu nti yandiba nga yaggwaamu.

Mu mboozi ey’akafubo ne ttivvi emu, Lwasa yalaze nti kati ssente azikwata mu ngeri ya njawulo ensangi zino olw'okussa ssente mu bantu abatasiima.

Tags:
Lwasa