Omugagga Lwasa naye nno teyeewummuza!..... Ono bwe yabadde mu mboozi ey’akafubo ne Kasuku, yategeezezza nti awulira yeekipira omwanattu Haffy Powers era yandiyagadde okubeera naye. Haffy Powers akola ku ttivvi emu.
Kyokka bino olwagudde mu matu ga Haffy Powers Kyokka n'alaga nti tayinza n'omulundi n'ogumu kwagala Lwasa kuba mukadde nnyo era si mwetegefu kulya ku mawolu.
"Sirya mawulo! Lwasa mukadde nnyo era ssi nsitayiro yange. Tankuba n'omulundi ogumu bweguti, Haffy Powers bwe yannyonnyodde Saymore Kawalata owa Youtube bwe yabadde amubuuza akana n'akataano ku bya Lwasa.