Nteekateeka okuzaalayo abaana, eby'okufumbirwa tebiri mu pulaani zange - Sheebah Karungi

Aug 25, 2023

Nteekateeka okuzaalayo abaana, eby'okufumbirwa tebiri mu pulaani zange - Sheebah Karungi 

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Omuyimbi Sheebah Karungi eby'okufumbirwa si by'aliko era talina ndowooza yonna nti alifumbirwa kuba ekyo si kye kirooto kye.

Wabula ateekateeka kuzaala baana n’omusajja atayagala kufumbirwa bwe bafaanaganya endowooza. Agamba nti yeeraba ng'ali mu mukwano n'omusajja naye nga si bafumbo ate nga tebabeera bonna , buli omu abeera wuwe beerabako ennaku ntono ddala so ssi bya kufumbirwa.

Bino yabyogeredde mu yintavuyo ya pulogulaamu ekolebwa Ruth Kalibbala.

"Sijja kufumbirwa, naye nteekateeka okuzaala abaana n'omuntu alinga nze-omuntu atafaayo ku ku byabufumbo era nga mwetegefu okubeera mu nnyumba ey'enjawulo ku yange. Tujja kukyaliragananga kwokka," Sheebah bwe yategeezezza Kalibbala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});