ABAANA b'abagenzi; Paulo Kafeero , Herman Basudde ne Livingstone Kasozi bacamudde abadigizi mu kivvulu ani asinga.
Junior Kafeero , Diana Kasozi , Katende Basudde baabadde ku bbaala ya Emirates esangibwa mu Lusanja e Kawempe mu kivvulu kye baatuumye 'ANI ASINGA', bano baayimbye nnyimba z'abazadde baabwe wamu n'ezaabwe.

Junior Kafeero Mugomasi Ng'ayimba

Katende Basudde Mutabani W'omugenzi Herman Basudde
Kasozi yafa May wa 1997 yaleka Diana wa myaka mito so nga Basudde yafa mu June 1997 ate Kafeero yafa mu May wa 2007 wabula Diana Kasozi ekivvulu teyasobodde kukimalako amaziga ne gamuyitamu olwo Kafeero Junior ne basindana ne Basudde Katende nga baayimbye z’abazadde baabwe ekyasanyudde abadigize ne banyenya ku galiba enjole.

Omukadde Ng'afuuwa Junior Kafeero Mutabani W'omugenzi Kafeero