"Omuntu gwe munsibako nti ye taata w'omwana wange, we nnamulabira nnali nazaala dda"
Nov 15, 2023
"Mukomye kalebule"
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
‘MUKOMYE kalebule!’ Juliana Kanyomozi bw’alabika okukoma ku bantu abasaasaanya ebitali bituufu. Omanyi mu 2020, Juliana yakubawo eddenzi era abaagala olugambo baatandika okubuuliriza taata w’omwana.
Abamu, baatandika okubijweteka nti yandiba wa Paasita Mondo Mugisha, ne wabaayo abalala abagamba nti wa muvuzi wa mmotoka z’empaka n’abaasembayo kwe kukikubawo nti yandiba nga mwana wa genero (‘first son’).
Juliana Ne Bbebi We Gwe Yazaala.
Wabula, Juliana bwe yabadde mu pulogulaamu ya Tusker Malt Conversessions, yatabukidde aboogera ebya kalebule n’ategeeza nti yasisinkanako ‘first son’ gwe bamuwaayiriza, omulundi gumu ng’ali e Soroti kyokka nga we yamulabira yali yazaala dda era yeewuunya abamumusibako gye babiggya.
“Ne taata w’omwana wange ebintu bino abiraba era abisoma wabula nze ng’omuntu, nasalawo mmukweke alame kumanyibwa buli omu,” Juliana bwe yategeezezza.
No Comment