King Saha attunka na 'honalebo' lwa mukazi!

Feb 21, 2024

Agatambula galaga nti omuyimbi ono aliko muwala w’omunene omu mu ggwanga gw’aganza ng’era yamuzaalamu n’abaana

NewVision Reporter
@NewVision

BINO by’akatambi k’amaloboozi akatambula ku mikutu gya yintanenti nga King Saha aliko omukazi gw’akaayanira n’omusajja gw’ayita ‘honalebo’ olw’okuganza mukazi we.

Omanyi King Saha, abawagizi be tabalagangako ku mukyala wadde ng’ebbanga lyonna babadde bayaayaana okumumanya.

Agatambula galaga nti omuyimbi ono aliko muwala w’omunene omu mu ggwanga gw’aganza ng’era yamuzaalamu n’abaana kyokka ng’ababitambuza, erinnya ly’omuwala n’ensibuko tebabyogera.

 Kati mu katambi kano ak’eddoboozi akaasaasaanye ku mitimbagano kawulikika nga King Saha aliko omuntu gw’ayombesa okuganza mukazi we.

Mu katambi kano, omusajja amuyita ‘honalebo’ era amulumiriza okuweereza abakazi ab’enjawulo abali ku yintanenti obubaka ng’abayita bbebi. King Saha era awera nga bw’agenda okuyigiriza ‘honalebo’ essomo ly’atagenda kwerabira.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});