Shakib alangidde Zari obukodo! Luno lunaggwa?
Aug 14, 2024
LUNO lunaggwa kati? Anti ne Shakib azzizzaayo omuliro nga naye ayita ku mitimbagano gya yintaneti.

NewVision Reporter
@NewVision
LUNO lunaggwa kati? Anti ne Shakib azzizzaayo omuliro nga naye ayita ku mitimbagano gya yintaneti.
Luno lutalo lwa kuwandula bigambo wakati w’abaagalana ababiri; Zari Hassan eyawoowebwa ne mwana mulenzi Shakib ku mukulo ogwayuuguumya South Afrika gye baagukolera omwaka oguwedde.
Zari Bw'afaanana Kati.
Entabwe y’okutandika okuwandula ebigambo, yavudde ku Zari, okukuza amazaalibwa ga muwala we Tiffany (ekitali kibi) nti kyokka eyali bba, Diamond Platnumz nga ye taata w’omwana, akabaga yakabaddeko (era ekitali kibi) naye nga beesaza ne Zari ebitali bya bulijjo n’amala naye ennaku eziwera, nga bali mu nnyumba ya Zari bakyekola.
Mu kugezaako okwemulugunya, omulenzi Shakib yanyiize obutamuwa kitiibwa kutuuka kukyaza musajja munne mu nnyumba n’amala naye ennaku eziwera.
Zari, yayagalana ne Diamond oluvannyuma lw’okufa kw’eyali bba, Ivan Ssemwanga gwe yazaalamu abaana basatu nga bonna balenzi. Ye Diamond, yamuzaalamu abaana babiri ne baawukana.
Shakib Bw'afaanana.
Zari ne Shakib, tebannafuna zadde. Zari, ye yasoose okuweereza obubaka ku mitimbagano ng’alinga ayisaamu Shakib eggaali nti talina kwemulugunya kuba mpale enywera muguwa nti n’ezisonga ku lindaazi oluusi taba nazo.
Ku Ssande, Shakib yalabiddwaako e Kololo ku bbaala emu ng’ali ne bacali be ku kabaga ka Sheila Gashumba akamanyiddwa nga Chop Life.
Mu katambi era akali ku mitimbagano, Shakib yaddizza Zari omuliro n’ategeeza nti akitegedde nti ye (Shakib) alina kwefaako ng’omuntu kuba akizudde omukwano agulimu yekka, Zari ali ku bibye.
Yayongeddeko nti mu mukwano mubaamu okuwang'ana ekitiibwa n’okuwuliziganya naye Zari tabikola ate mukodo ekisusse.
Wadde Zari yayise Shakib empale enywera muguwa, mbu kino kyandiba eky’okumujerega obujerezi kuba omulenzi ono, mmotoka akyusaako nkyuse wadde eyiye emanyiddwa ya kika kya Jeep eriko n’amannya ge ng’eri mu langi ya kyenvu.
Alina n’edduuka eritunda engoye ku kizimbe kya UK Mall e Kansanga. Kuno kw’agatta okunyonyoogera yintanenti ng’akikozesa emirimu egy’enjawulo.
Kigatto waffe yatutetegeezezza nti apangisa ku apatimenti emu e Buziga wadde ng’abamu babitebya nti yazimba Munyonyo mbu era Zari lw’azze, gy’agenda ne basula eyo.
No Comment