Nobat Events ayagala Full Figure amuliyirire obukadde 250 olw'okukola akatambi k'alumiriza okubaamu ebigambo ebyamuviirako obutafuna bantu mu kivvulu kya Alien Skin

Feb 26, 2025

Kino kivudde ku Full Figure okukola akatambi ng’alengezza ekivvulu n’okugaana abadigize okugenda ng’abatiisa nti singa kabatanda ne bagenda, baakubbibwa, abawala baakusobezebweko n’okukubibwa. 

NewVision Reporter
@NewVision

KAMWA kabi....’ Na bwe kityo, ebigambo Full Figure bye yayogera ng’ekivvulu kya Alien Skin kinaatera okutuuka bimuzaalidde leenya. 

Nobat Events bw'afaanana.

Nobat Events bw'afaanana.

Nobat Twizire amanyiddwa nga Nobat Events eyategeka ekivvulu kino gye buvuddeko e Lugogo, ayagala Full Figure amuliyirire obukadde 250. 

Kino kivudde ku Full Figure okukola akatambi ng’alengezza ekivvulu n’okugaana abadigize okugenda ng’abatiisa nti singa kabatanda ne bagenda, baakubbibwa, abawala baakusobezebweko n’okukubibwa. 

 

Nobat agamba nti bino ebigambo bye bimu ku byamuviirako obutafuna abantu ku olunaku olwo naddala ‘abagazi’ mu nsawo abaalina okutuula mu kifo ky’abakungu ekya ‘VIP’.

 “Akatambi kaatiisa abadigize abaali baguze emmeeza okujja omuyimbi ono era abamu bansaba n’okubaddiza ssente zaabwe ze baali bampadde,” Nobat bwe yategeezezza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});