Red Banton akoze ekiraamo n'agaana Chameleone okusembera we balikuma olumbe lwe wadde okuwa obubaka obukubagiza

Feb 26, 2025

 Yasinzidde ku mutimbagano, n’akola ekiraamo kye era n’asaba nti bw’alifa, abalibaawo bakiteeke mu nkola.

NewVision Reporter
@NewVision

RED Banton y’omu ku bayimbi abaludde mu kisaawe kya myuziki era yakazibwako erya ‘Jjajja Red Banton’.

 Wadde aludde okufulumya ennyimba, yeewaana nti atadde ettoffaali ddene ku abayimbi abasinga wano.

 

 Yasinzidde ku mutimbagano, n’akola ekiraamo kye era n’asaba nti bw’alifa, abalibaawo bakiteeke mu nkola. Yagambye nti bw’alifa, tayagala muyimbi Jose Chameleone asembere awalikumwa olumbe lwe wadde okuwa obubaka obukubagiza. 

Abalala yataddeko Jeff Kiwa owa Team No Sleep kw'ossa Dirisa (Budir Media). Era yagambye olumbe lwe lulina okukubirizibwa Mohammed Nsereko era muwala we Magaret Lubega Banton y’alina okumusikira. 

Eby’okumuziika ku biggya by’ekika, yabigaanyi n’asaba aziikibwe emabega w’ennyumba, we baaziika jjajja we omukazi. Byebyo!

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});