"Ndi munnamisono..."

Mar 24, 2025

"Nze ndi muntu mukkakkamu era ne mu buto, saafuna ku kibooko za kukola ffujjo."

NewVision Reporter
@NewVision

WABULA olabika okuba ow’effujjo...
Nze gwe waakalaba, lwaki onkonjera?

Nsonyiwa okukuwaayiriza
Era nange mbadde nkwewuunyizza kuba nze ndi muntu mukkakkamu era ne mu buto, saafuna ku kibooko za kukola ffujjo.

Nakabiito Ng'ayogera.

Nakabiito Ng'ayogera.

Tuwe amannya go
Nze Shakirah Nakabiito, erya Shaks likola ssente

Simanyi okyasoma?
Nedda, nnina emirimu gyange egy’enjawulo gye nkola.

Mirimu ki egyo?
Ntunda engoye n’okuzitunga ate era nsitayiringa abambazi.
 
Kiki ekyakusikiriza okukola emirimu egyo?
Njagala nnyo ebyemisono y’ensonga lwaki nasalawo kugufuulira ddala omulimu.

Nammwe bannamisono mulina ebibasoomooza mu mulimu gwammwe?
Tukola n’abantu abajjudde obutaagaliza naye era Mukama atuyimusa n’atuyisaawo.

Ebirala byonna tusobola okubigumiikiriza.
Mu myaka ng’etaano weeraba wa mu mulimu ogwo?

Nakabiito Bw'afaanana.

Nakabiito Bw'afaanana.

Nsuubira okubeera munnabyamisono ow’amaanyi mu ggwanga lino
Bintu ki by’otera okukola okwewummuzaamu?

Njagala nnyo okuwuga n’okwolesa emisono.
Ate okuzinamu ku mazima kumpummuza ebirowoozo.

Simanyi obeera Naalya?
Akaalo amatendo Nansana, gye nkasibira era mbeera ne bakadde bange

Yiiii?
Era akasente kange bwe nkafuna nkakozesa okwekulaakulanya mu bintu ebirala.

Tewegomba kubeerako wekka n’otandika obulamu obubwo wuuyo olina n’omulimu?
Nkyali bbebi wa bazadde bange era tebannankoowa.

E Nansana eyo mpulirayo emboozi nnyingi ezivaayo, wamma bituufu
Emboozi mpitirivu naye ezisinga si ntuufu.

Kano akanyiriro k’oliko kalabika kava mu mmere gy’osinga kwagala kulya?
Akawunga n’ebijanjaalo bye nsinga okwagala.

Nze eyo emmere nagigoba ewange naye ndowooza mu basomi waffe mulimu b’ewoomera.
Bwe kiri...

Kati bw’oba waakugwa mu mukwano, bisaanyizo ki by’onoonya mu musajja?
Omuntu ayagala Katonda, afaayo, alina okwagala ate omuntumulamu nga wa mazima tankola bubi.

Nsi ki gye weegomba okukugendamu?
Jamaica kuba nakula taata ampita ‘Mujamaica’ we.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});