Fik Gaza aleetebwa leero mu kkooti ku misango egyekuusa ku bubbi
Apr 07, 2025
Yakwatibwa ku Lwokuna wiiki ewedde ne banne abalala basatu ku misango egyekuusa ku bubbi era babadde bakuumibwa ku poliisi y’e Kibuye.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUYIMBI Shafick Jjingo amanyiddwa nga Fik Gaza aleetebwa leero mu kkooti.
Yakwatibwa ku Lwokuna wiiki ewedde ne banne abalala basatu ku misango egyekuusa ku bubbi era babadde bakuumibwa ku poliisi y’e Kibuye.
Kigambibwa nti, nga February 24, 2025, Fik Gaza ng’ali ne Rajab Magoola kw’ossa David Mutumba (Marvin Gaza) babba obukadde 10 n’essimu okuva ku Julius Otieno e Luwafu -Makindye.
Nti, Gaza ne ttiimu ye baali mu mmotoka ekika kya Mark X ne batomera ppiki, Otieno kwe yali oluvannyuma ne batandika okumukuba nga bwe bagamba nti; “omubbi wuuno” nti, kyokka ate abaali bakuba ate nga bambadde obukookolo.
Waliwo ne fayiro endala eraga nti, waliwo omusuubuzi eyabbibwako obukadde 82 nga poliisi bwe yalondoola ku kkamera enkessi abaamubba baddukira mu maka ga Fik Gaza.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza nti, bano baleetebwa leero mu kkooti e Makindye okusomerwa emisango egibavunaanwa.
No Comment