Fik Gaza bamwongeddeko emisango emirala
Apr 08, 2025
EBY’OMUYIMBI Fik Gaza byongedde okuwanvuya. Ayongeddwaako emisango emirala ne basaba, abaabadde bamutwala mu kkooti eggulo, okulindako.

NewVision Reporter
@NewVision
EBY’OMUYIMBI Fik Gaza byongedde okuwanvuya. Ayongeddwaako emisango emirala ne basaba, abaabadde bamutwala mu kkooti eggulo, okulindako.
Fik Gaza, yakwatibwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ne banne abalala okuli; Rajab Magoola ne David Mutumba (Marvin Gaza) nga kigambibwa nti nga February 24, 2025, baalumba ne babba obukadde 10 n’essimu okuva ku Julius Otieno e Luwafu Makindye mu Kampala.
Baggulwako emisango gy’okubbisa eryanyi era baabadde basuubirwa okutwalibwa mu kkooti e Makindye okusomerwa emisango gino eggulo, ekitaasobose.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti omuwaabi wa gavumenti yawabudde okukyusa omusango okuva ku kubbisa eryanyi bamugguleko gwa kubba bubbi nti kyokka baabadde babimalirizza ate poliisi y’e Wakiso n’ebasaba balindeko, nayo esooke emuggyeko sitetimenti ku ffayiro endala ey’okubbisa eryanyi.
No Comment