Chamilli ayise abantu badde eri Katonda

Apr 21, 2025

OMUYIMBI dokita Jose Chameleone asabye abamwegomba okumukoppako okwagala Katonda n’okumutenderezanga.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI dokita Jose Chameleone asabye abamwegomba okumukoppako okwagala Katonda n’okumutenderezanga.

Yabadde mu mmisa y’okwebaza Katonda okumuwonya obulwadde eyabadde ku St. Joseph Parish e Lweza n’agamba nti ebbanga ly’amaze ng’akuba endongo emufudde ow’akabi era abantu abamu bamukoppyeeko ebintu eby’enjawulo.

Dr. Jose Chameleon Mu Klezia Mu Kusaba.

Dr. Jose Chameleon Mu Klezia Mu Kusaba.

Yasinzidde wano n’abasoomooza okumukoppako n’okwagala Katonda n’okubeera abakkiriza nti kuba yekka bwe bulamu.

Yagambye abantu abamunenya nti akola ebintu ebimu ebitajja, bakendeezeemu okumunenya kuba

naye erinnya lya ‘Chameleone’ oluusi limusukkako nga n’abo abamunenya singa alibawaamu olunaku, bayinza obutasobola kulyetikka.

Yakakasizza Faaza Luke Ssebuliba eyakulembeddemu Mmisa nga bw’agenda okusigala ng’ayimba ennyimba ez’amakulu nti era ez’obuwemu taliziyimba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});