Biggie yeewozezzaako ku bya Alien Skin okukubwa e Iganga

Apr 23, 2025

GYE buvuddeko, omuyimbi Alien Skin yakubwa n’emmotoka ye n’eyonoonebwa abavubuka e Iganga bwe yali mu kivvulu era poliisi n’etandika omuyiggo gw’abaakola kino.

NewVision Reporter
@NewVision

GYE buvuddeko, omuyimbi Alien Skin yakubwa n’emmotoka ye n’eyonoonebwa abavubuka e Iganga bwe yali mu kivvulu era poliisi n’etandika omuyiggo gw’abaakola kino.

Agaliwo galaga nga ddiiru eno, bwe yamuweebwa Miriam Mutakubwa amanyiddwa nga Biggie Events wadde nga yali yategeeza nga bw’atakyaddamu kutegeka bivvulu bya nsi nti, azze ku bya Mungu we (ng’ategeka mikolo gya Kisiraamu).

Kyokka abawagizi ba Alien Skin beebuuza kye yali akima mu maka ga Alien Skin e Makindye kuba Biggie munywanyi wa ffamire ya Bamayanja omuli ne Pallaso bwe batalima kambugu na Alien Skin.

Abawagizi ba Alien (abeeyita Fangone soldiers’) nga bwe batasiba zikweya, baatandikiddewo okulutambuza nga Biggie bwe yali mu lukwe lwa Alien Skin okukubwa e Iganga era yamanya buli ekigenda mu maaso.

Wabula Biggie agamba nti, abawagizi ba Alien balina okumwebaza kuba ye yaleeta omulimu n’aguwa omuntu waabwe ate nga guliko ssente eziwera.

“Nze okubeera mukwano gwa ffamire ya Bamayanja tekitegeeza nti, nnina kuwalana abayimbi abalala era sandimuwadde mulimu ogwo singa nnamulinako akakuku,” Biggie bwe yategeezezza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});