Winnie Nwagi atabukidde dizayina we gw'agambye nti y'amuwa engoye ezimwogezaako nti ayambala bubi

Apr 29, 2025

Nwagi agamba nti annyonnyola dizayina we amwambaza, engoye z’aba ayagala okusinziira ku mukolo gw’aba agendako kyokka agenda okuzimuwa ng’azitunze bulala, n’amwogezaako n’okumuvumya mu bantu. 

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Winnie Nwagi, atabukidde dizayina we gw’agamba nti amwogezaako.

Nwagi agamba nti annyonnyola dizayina we amwambaza, engoye z’aba ayagala okusinziira ku mukolo gw’aba agendako kyokka agenda okuzimuwa ng’azitunze bulala, n’amwogezaako n’okumuvumya mu bantu. 

Nwagi ku siteegi lwe yali ku mwoleso gwa Bride and Groom ng'ayimba.

Nwagi ku siteegi lwe yali ku mwoleso gwa Bride and Groom ng'ayimba.

Ku wiikendi, Nwagi alina omukolo gw’embaga kwe yabadde era yeesaze ekiteeteeyi ekiddugavu nga kiriko siriiti ekoma eri ng’ataddeko akatimba ku ngulu naye nga buli kiri munda kirabika.

Nwagi yeewozezzaako nti tebalowooza nti y’ayagala okwambala bw’atyo kyokka nga dizayina we, y’azimuwa ku ssaawa envannyuma nga naye talina kyakukikolera.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});