Abazannyi ba ffirimu e Ndejje Lubugumu bacamudde abalabi n'emizannyo

Apr 30, 2025

ABALABI kata baffe enseko, olw’obukugu obwayoleseddwa abazannyi b’emizannyo ne ffirimu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABALABI kata baffe enseko, olw’obukugu obwayoleseddwa abazannyi b’emizannyo ne ffirimu.

Bano baasanyudde abalabi, abaabadde bazze obuzzi okunyumirwamu ku bwereere. Abazannyi baakulembeddwa Jude Baamundaga, dayirekita w’ekibiina kya Pearl Screen Pictures Uganda, Meddie Ssenyonga, Musa Zimbe, Mumbejja Sumayah, Mzee Lubowa n’abalala mu maka gaabwe e Ndejje Lubugumu. 

 

Baamundaga agamba nti mu nteekateeka eno, baabadde beegezaamu nga beetegekera empaka z’okuzannya omuzannyo gwe baayise ‘Omuzadde Tagulwa’ gwe bategese okujjula nga May 16 ku Bat Valley Theater ng’okuyingira kwa 20,000/-.

 Abazannyi ba ffirimu ab’amannya n’abo abatandika baayawuddwaamu ebibinja bisatu mwe bagenda okwoleseza ebitone n’obuyiiya era abasinga baakuwangula ebirabo n’okuzuula ebitone ebipya mu kisaawe ky’emizannyo
ne ffirimu. 4

Abalabi baalabiddwaako nga bakuba enduulu ey’okunyumirwa n’abamu okuggyayo amasimu bakwate ebigenda mu maaso.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});