Vinka apepeya na lulenzi e Bungereza

Jun 05, 2025

Vinka omukwano gulabika gulabika gwamulinnye n’asazaamu ekivvulu kwe yabadde alina okuyimba n’agenda ne bba Nelly Witta e Bungereza okujaguza amazaalibwa ge. 

By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision

VERONICA Luggya amanyiddwa nga Vinka bwe yayimba akayimba ka ‘Omukwano gwo’ yali akitegeeza. 

 

Era omukwano gulabika gwamulinnye n’asazaamu ekivvulu kwe yabadde alina okuyimba n’agenda ne bba Nelly Witta e Bungereza okujaguza amazaalibwa ge. 

Okumanya Vinka mukazi mmekete, okugenda e Bungereza ne bba, kigambibwa nti bakama be ku Swangz Avenue teyabagambye era nabo beekanze bifaananyi ku mutimbagano ng’ali ne bba ku kisaawe. 

Abamuli okumpi bagamba nti kino Vinka kye yakoze, kyongera kukendeeza ku ky’obuwangaazi bwe mu Swangz Avenue anti waliwo agatambula nti essaawa yonna agyabulira. 

Vinka ne bba balina omwana omu era obubaka bw’amazaalibwa bwe yatadde ku mutimbagano, yeebazizza Nelly okubeera taata omulungi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});