Kluthum abaze ekiwandiiko nnamutaayiika ng'annyonnyola lwaki yayawukanye ne Acram
Jun 17, 2025
KLUTHUM Nabunnya Muzaata amaka gamutabuseeko oluvannyuma lwa bba Acram Gumisiriza okusinziira ku kyeyo gy’amu mu America n’amusuulawo.
By Josephat Sseguya
Journalist @New Vision
KLUTHUM Nabunnya Muzaata amaka gamutabuseeko oluvannyuma lwa bba Acram Gumisiriza okusinziira ku kyeyo gy’amu mu America n’amusuulawo.
Embeera eno ewalirizza Kluthum okufulumya ekiwandiiko nnamutaayiika ku Mmande kumakya ng’akuba endeka mwoyo eri omwagalwa we gwe yabeererawo mu bubi ne mu bulungi omwali n’okumuggya ku poliisi ku misango gy’obufere n’okugula bamalaaya n’atabasasula.
Akram Ne Dr. Kluthum nga bakyali mu mukwano.
“Nasisinkaka Acram mu 2021, ne tufumbiriganwa mu butongole mu 2022. Mu kiseera ekyo saalina agamba oluvannyuma lwa baze, Sheikh Muzaata Nooh Batte okufa. Wadde mu ntandikwa nafuna ebyankanga ku mwagalwa wange naye ne ng’uma nga mmanyi bijja kutereera,” Kluthum bwe yalombozze mu kiwandiiko.
N’agattako nti; Oluvannyuma lw’okwefumiitiriza, n’okufuba okuzzaawo laavu yaffe nsazeewo okukita mu bulumi obungi.
Mu kiwandiiko ekyo, yakkirizza ayawukane ne munne Acram gwe yayanjulira bakadde be mu November wa 2022 ne bakola n’embaga makeke ku Mestil Hotel eyaliko n’obugombe.
Kluthum yalombozze ebikuuno bye yabadde ayita kungulu ng’agamba nti takyaddingana na Acram obulamu bwe bwonna bw’asigazza ku nsi.
Kwabadde kulombojja kwennyini nga bwe yeegayirira bannansi bamusonyiwe, bannaddiini, bannabyabufuzi, abasuubuzi, ab’ebyenjigiriza, mikwano gye ne baganda be olw’ekyo kye yasazeewo.
Yamalirizza alaga, Sheikh Abdul Rahman Sserunjogi nti gwe yalonze akole ku by’okubagattulula. Oyo agenda kukolagana ne famire ya Kluthum ekintu bakimale nga tewali abanja munne.
Kluthum ne Acram bazze bafuna obutakkaanya nga Acram alina by’akoze ebimunyiiza kyokka n’amuwolereza ekizze kinyiiza abantu nga beebuuza lwaki talaga bunyiikaavu bwe.
No Comment