“MBALINZE mbakakase kye bayita okuyimbisa omulere n’onyumirwa n’otoyoya bigambo,” Isaiah Katumwa, omufuuyi w’omulere bwe yayogedde ng’akoowoola abanyumirwa myuziki wa Jazz okweyiwa ku Serena ku Ssande eno.
Eno agenda kubaayo n’abafuuyi b’omulere abalala ab’akabi mu Uganda mu kivvulu kye batuumye Isaiah Katumwa 30 years of Jazz.
Bano kuliko; Moses Matovu, Happy Kyazze, Micheal Kitanda, Joseph Sax n’abalala.
Katumwa yategeezezza nti abanajja mu kivvulu, baakunyumirwa mu ngeri eteri ya bulijjo.
Ng’oggyeeko abo abafuuwa omulere, ekivvulu kyakubaako n’abasuna gitta nga Tshaka Mayanja, Myko Ouma, Charmant Mushaga n’abalala so ng’ate n’abanyumirwa myuziki ow’okwatula ebigambo, abayimbi nga Naava Grey baakubaayo okubasanyusa.
Bw’ogula tikiti kati, ogifuna ku 200,000/- ate ku mulyango ejja kubeera ya 250,000/. Ekivvulu kitegekeddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.