OMUYIMBI Alien Skin acankalanyizza ekivvulu kya ‘Ekyepukulu’ wakati mu bawagizi abaabadde banyumirwa endongo e Kololo.
Nga bulijjo, yayingiddewo n’eggaali ye eyalemesezza ey’omuyimbi Mudra okuva mu kifo wabula oluvannyuma embeera yazze mu nteeko, ne bakuba abantu omuziki.
Minisita w’abavubuka n’abaana, Balam Barugahara yasomye obubaka bwa Pulezidenti Museveni obusuubiza okufaayo eri abategesi b’ebivvulu. Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex ye yategese ekivvulu kino.