Faith Robinah Kabugo aleese Nvunama Wooli olulaga okwetowaza mu maaso ga Katonda
Robinah Kabugo muyimbi wa nnyimba za gosipo oba ziyite ez’eddiini aludde ng’ayimbira mukama era ku mulundi guno, agamba Nvunama Wooli lulaga okwetoowaza mu maaso ga Katonda, okulaga omutima ogw’okwewaayo n’okukkiriza mukama mu byonna.
Yafulumizza ne vidiyo erimu ebifaananyi eby’omutima, ebiraga obutuukirivu n’amaanyi g’okusinza, nga bigatta eddoboozi ery’omwoyo n’obubaka obukwata ku nkolagana ey’omuntu ne Katonda.
Faith Robinah Kabugo agamba nti oluyimba luno lwava mu kiseera ky’okusaba n’okwewummuza mu maaso ga Mukama, era asuubira nti lujja kukwata ku mitima gy’abantu bangi, okubazzaamu amaanyi n’okubakubiriza okudda eri Katonda mu mazima.
Abawagizi be n’abagala ennyimba z’okusinza yabasabye okunoonya oluyimba lwe luno batambuze n’enjiri erulimu ssaako okusikiriza abalala nabo okulwerabirako bafune obubaka obubaka obululimu.