BEBE COOL agamba y’omu ku bayimbi Kenzo be yasooka okutuukirira ng’amutegeeza nga Gen. Salim Saleh bwe yali amusabye okukola ekibiina ekigatta abayimbi bonna kye yatuuma Uganda National Musicians Federation (UNMF).

Kenzo akulira ekibiina kino
Oluvannyuma lwa Bebe okwogerezeganya n’abayimbi abo, bakkiriza okwegatta ku Kenzo era ekibiina ne kitandika.
Wabula ekyasinga okumunyiiza kye ky’okuba nti ye yali omuwanika w’ekibiina ekyo era olumu ssente zaagenda ku akawunti yaabwe naye ate zaavaako nga tategedde yadde.
Bebe agamba nti yagenda okukizuula ng’ekibiina Kenzo yakiwandiisa mu mannya ge n’abantu abalala abatonotono era ye kwe kusalawo okumulekera ekintu kye.