OMUSAJJA akakkanye ku mukyala we n'amutemaatema n'amutta ng'amulanga ku mumma kaboozi.
Ettemu, libadde ku kyalo Kazo mu muluka gw'e Kasana mu Ggombolola y'e Kibalinga e Mubende, Ambrose Turyasingura gy'agambibwa okuttira mukyala we Annet Turyahabwe 30.
Bano bimbi, babadde bakozi mu nnimiro ya Hassan Turyatemba era nga kigambibwa nti mu ttumbi, omusajja yavudde mu mbeera bwe yagambye ku mukyalawe n'agaana , nti kwe kumutema ebiso ku mutwe ne ku nsingo n'amuttirawo.
Kitegeezeddwa nti muwala waabwe Vastina Ainembabazi , yeyatemezza ku boss n'abatuuze abasobodde okukwata Turyasingura ne bamukwasa poliisi y'e Kibalinga ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi, agambye nti okunoonyereza , kugenda mu maaso.