ABAWALA 70 n’abalenzi 30 basunsuddwa okwolesa mu mwoleso gwa Uganda
International Fashion Week. Abawala bano abanyirira nga abanaaba amata n’abalenzi abaakola obunyama, baayanjuddwa ku Lwomukaaga mu kibangirizi kya Africa Hall
ku yunivasite e Makerere.
Munnabyamisono Santa Anzo agamba nti abawala abaayanjuddwa bava mu mawanga ga
Africa ag’enjawulo okuli; Uganda, Congo, Eritrea, Sudan, Nigeria, Rwanda, Kenya, Somalia n’amalala nga baafuna okusaba kwa bantu 300 kwe kusunsulamu bammodo 100. Okwolesa kwa mwezi ogujja okuva nga 22 okutuuka nga 27 ku Serena era Anzo akunze abavuganyam okuwaayo ekisinga