Kasalabecca

Ebonies ereese omuzannyo ogucamudde abalabi

OMUZANNYO gwa ba Ebonies omupya ogwa Vows and Vendettas oba guyite Akabadigucamudde abaagulabyeko ne basigala nga beenuguuna.

Dr. Bossa ne bannakatemba ba Ebonies nga bazannya omuzannyo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUZANNYO gwa ba Ebonies omupya ogwa Vows and Vendettas oba guyite Akabadi
gucamudde abaagulabyeko ne basigala nga beenuguuna.

Guno gwasabuukuluddwa
wiikendi ewedde ku Theater Labonita nga guli ku mbaga eyali etegekebwa kyokka laba akatambi bwe kafulumira ku mikutu emigattabantu ng’eyalina okuba Bestman ate abojja’ enswa za mukwano gwe omugole.

Oluvannyuma, omugole omusajja baamubuzeebuze ne bamutegeeza nti ensi bw’etyo era n’akkiriza omukolo ne gubaawo.

Wabula ate baba bali ku mbaga, ow’emmundu ate gye yafubutuse ng’ayagala okutta musajja olw’okuba naye yali yamwagalako kyokka n’amuusulawo ngan naye ayagala kumuggyawo ne wabaawo obunkenke.

Mu kuguzannya ku siteegi, eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, George William Thembo Nyombi, akulira akakiiko k’ebyempuliziganya mu ggwanga yeebazizza aba Ebonies olw’okuwa abantu emizannyo eginyuma ebbanga lyonna.
Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa yagambye nti omuzannyo guno baagukoze
ng’ekirabo ky’Abasiraamu ekya Iddi eno gye bajaguza era ne leero ku Idi, baakugulaga
ku ssaawa 1:00 akawungeezi ng’okuyingirwa kwa 30,000/- ne 40,000/-