Kasalabecca

Master Parrot yafuna emitwalo 73 mu nnyimba ze

ABA ffamire y’omugenzi Master Parrot baalaze agenda okuddukanya ennyimba z’omuntu waabwe.

Gyaviira owa UPRS ng’akwasa Kiwumulo ebiwandiiko okuva mu UPRS. Wakati ye maama wa Master Parrot.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABA ffamire y’omugenzi Master Parrot baalaze agenda okuddukanya ennyimba z’omuntu waabwe.
Eggulo, baayise ab’ekitongole kya Uganda Performing Rights Society (UPRS) okubalaga gwe baalonze, alondoole n’ebyensasula. Kino kiddiridde ekitongole kino okuvaayo wiiki ewedde ne bategeeza nga bwe batandise okuwa abayimbi ku ssente zaabwe ze baafuna mu 2025. Moses Ssozi ku lwa ffamire y’omugenzi, yategeezezza nti obuvunaanyizibwa ku biyiiye by’omugenzi Master Parrot babukwasizza mwannyina Lydia Kiwummulo. Bino baabyogeredde mu maaso ga ssentebe w’ekyalo, Master Parrot gy’abadde abeera nga ne maama w’omugenzi yabaddewo. Kiziri Gyaviira okuva mu UPRS yabanjulidde nti omugenzi omwaka oguwedde yakola ensimbi 734,451/- mu nnyimba ze era baakuziwa mwannyina Kiwummulo.