Kasalabecca

Chamilli agenze ne nnyina e Tanzania!

OKUZAALA kujaagana era mukyala Prossy Mayanja, maama w’omuyimbi Jose Chameleone, y’aloza ku buwoomi bw’enjogera eno. Ono agenze Tanzania ne mutabani we era kigambibwa nti, gwe mulundi gwe ogusoose okugenda mu ggwanga eryo ng’ayita waggulu.

Chamilli agenze ne nnyina e Tanzania!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

OKUZAALA kujaagana era mukyala Prossy Mayanja, maama w’omuyimbi Jose Chameleone, y’aloza ku buwoomi bw’enjogera eno. Ono agenze Tanzania ne mutabani we era kigambibwa nti, gwe mulundi gwe ogusoose okugenda mu ggwanga eryo ng’ayita waggulu.

Chamilli agenze Tanzania okuyimba era ayongedde okukakasa akakwakkulizo ke yassaawo eri bapulomoota abamutwala ebweru w’eggwanga nti, alina okutambula ne nnyina.

Gye buvuddeko omuyimbi ono yagaana okugenda e Bungereza nga nnyina taweereddwa tiketi era abantu abamu kino baakisanyukira eky’okuddiza omuzadde.

Wadde guli gutyo, essaati Chamilli gye yayambadde ng’agenda, yayogezza abamu obwama ng’abamu bagamba yakula nga bbulawuzi nga bwe beebuuza nti, ate y’ani anti ‘madaamu’ we amanyiddwa baayawula dda.

Tags:
Jose Chameleon
Tanzania
Chameleone
Prossy Mayanja
Kuzaala
Kujaagana