Kasalabecca

Karole Kasita ennyonyi temukoze bubi!

Karole Kasita akomyewo mu ggwanga. Karole Kasita yali yagendako mu mawanga ga Bufalansa ne Girimaani okuwummulamu.

Karole Kasita ennyonyi temukoze bubi!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Karole Kasita akomyewo mu ggwanga. Karole Kasita yali yagendako mu mawanga ga Bufalansa ne Girimaani okuwummulamu.

 

Omanyi omwaka guno Karole tegumubeeredde mwangu okusinziira ku bamuli okumpi.

 

Ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe, kazannyirizi Shawa y’omu ku baamwanirizza era n’amuwa n’ebimuli.

 

Ng’oggyeeko eby’omukwano ne taata w’omwana we okujjamu ebirumira, mw’ategekedde n’ekivvulu kye ekikyasinze obunene bukyanga atandika okuyimba ku wooteeri ya Serena.

 

Bino byonna byamumalako omubiri n’eeddembe era kwe kusalawo agendeko mu mawanga ago yeewumuzzeeko.

Tags:
Kuwummula
Karole
Kasita
Germany
France