Alien Skin omuyimbi aliko akaco kano olwa sitayiro y'ennyimba ze atiisizza okuwummula eby'okuyimba.
"Nnyinza n'okuwummulamu omuziki omwaka guno we gunaggweerako, nkomewo mu January w'omwaka ogujja, nnyinza okugoba ku bintu ebirala ebivaamu ssente," Alien bwe yawandiise ku mukutu gwe.
Kyokka abawagizi abamu bamativu nti talina gy'alaga akyaliwo nnyo.