Kasalabecca

Alien Skin atiisizza okuwummula eby'okuyimba

Alien Skin omuyimbi aliko akaco kano olwa sitayiro y'ennyimba ze atiisizza okuwummula eby'okuyimba. 

Alien Skin atiisizza okuwummula eby'okuyimba
By: Frank Lukwago, Journalist @New Vision

Alien Skin omuyimbi aliko akaco kano olwa sitayiro y'ennyimba ze atiisizza okuwummula eby'okuyimba.

"Nnyinza n'okuwummulamu omuziki omwaka guno we gunaggweerako, nkomewo mu January w'omwaka ogujja, nnyinza okugoba ku bintu ebirala ebivaamu ssente," Alien bwe yawandiise ku mukutu gwe.

Alien Skin tannaba kwogera nsonga ntongole eyavuddeko okuba n'endowooza bw'eti, ekirese abawagizi be bangi mu bibuuzo nga baagala okumanya ebiseera eby’omu maaso kiri kitya, tasuulawo tawulo nga bakyamwetaaga!

Kyokka abawagizi abamu bamativu nti talina gy'alaga akyaliwo nnyo.

Tags: